That Is Life Mwattu Song Lyrics - CMP Agency - Songwriter - Music Publisher

That Is Life Mwattu Song Lyrics

That is Life Mwattu song lyrics:


That is life mwattu song lyrics in Luganda language are written by Cyrus Migadde

Song Intro:
Ebintu byonna bwebibanga bikyaamu kiruma ani?
Kiruma nze, kiruma gwe, kiruma ffe fenna.

Verse 1
Racomstar lye linya nze nyingidemu
Omu kwomu mbalasizza nakazindaro
Tulyawulemu mwenna abatemu
Abatayagala ddoboozi lino kuyitamu
Mumanyi biki dala byempisemu
Ebirungi tebabala ebikyamu byebalaba
Mubuno obulamu ani ayagala okumusikira muntamu
Ani atalaba nti ebintu byonna bikyamu
Mukinziremu mukiffo kyokudda mukanemu
Nze kabidde bandumira nziramu
Kyenva nkwata enyukutta emu kwemu
Enyukutta evuga emu kwemu
Teyigiliza omu, oluganda luyisemu
Neyasasura agwasoka yanyumirwa nadamu
Kuba Racomstar na bantu baffe ffena tukyali wamu
Ffena tussa kimu, kuba tusibuuka wamu
Batuleeke ffe tukyakalemu, twesanyukemu
Mweno enaku etali yomu, ani ali musanyu?


Click to check out another original luganda song “Sibalimba Ndayira song lyrics” at CyrusMigadde – com!!


Chorus
Abaavu baffa bwaavu x2, yeeh, kino sipikya!
Abaggaaga baffa masavu x2, yeeh, kino sikipya!
That is life mwattu x2, yeeh, kino sikipya!

Verse 2
Munadawa abaana ababavu
Ebiwuuka byajijra baana babavu
Musikira bizibu na bwavu
Binojo anakuwa emitwalo omusanvu
Gwe nogana okumuwa ku lavu
Nga bali obakolera enaku kasanvu
Empeera jofunayo gaba mabavu
Olina okunyilira okufuna lavu
Taata alina okufuna ekanzu
Maama olina okumugulira kaleesu
Naye ezo sente akuteze kamasu
Ntononyo okuyisa amalusu
Tozikiriza kutwalira bulamu
Banange sente zirimu omuzimu
Nagezaako okununula love
Naye mafuta mingi yansinga akavu
Nandisobode ntya okuwonya sirimu
Nagezaako naye nga munsawo sirimu


Click to check out another original luganda song “Ebbaluwa song lyrics” at CyrusMigadde – com!!


Chorus
Abaavu baffa bwaavu x2, yeeh, kino sipikya!
Abaggaaga baffa masavu x2, yeeh, kino sikipya!
That is life mwattu x2, yeeh, kino sikipya!

Verse 3
Wotuuka mumasanganzira
Banange okwata kubo ki?
Banange amanyi ekibuuzo ekyo
Tuyambe bambi okitudiremu
Bagamba nti wotoononya kubo lyojaamu
Nga gwe wetegeeka kuffa bwavu
Nemuggulu totuka nti lwabujjemu
Katonda eyakuuwa engalo amagulu
Nbwongo okusobola okwawulamu
Ekituufu kwekyo ekikyamu
Walemebwa naye nakuvaamu
Nze banange mpulira nfa enugu
Abaggaaga batulisa malusu
Mbu okugabana nabavu oba musiru
Kale emeere bakasukira dala wala mulusuku
Nkubuulire ki ekipya ekyo kyotoyisemu
Filira ekyo kyoka kyokiririzaamu


Click to check out ALL Luganda song lyrics at CyrusMigadde – com!!


Chorus
Abaavu baffa bwaavu x2, yeeh, kino sipikya!
Abaggaaga baffa masavu x2, yeeh, kino sikipya!
That is life mwattu x2, yeeh, kino sikipya!


If you want to BUY, LICENSE, USE or OWN the copyright to That is life mwattu song lyrics or other Luganda Lyrics for music songs written by #Racomstar /CyrusTheWriter / #CyrusMigaddeSonglyrics,©CyrusMigadde.com, GO TO MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or by using the contact form below. Unauthorized use of these lyrics is prohibited and will lead to prosecution.


Contact Cyrus Migadde

Please send a message to Cyrus Migadde below

By using this form you agree with the storage and handling of your data by this website

Leave a Comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.