Kwata Byange Song Lyrics

Kwata Byange song lyrics verses and choruses are below:


Kwata Byange song lyrics

Song Verse 1
Obulamu bwomuvubuuka bufunza
Bufuunda nga akaduuka bwobwegendereza
Mubyonna byokola olina kwetowoza
Omala biseera okudawo newekaza
Ngeno bakukyunga, buli musango bagukusinza
Tolaba gwoziiza naye nga tebanakumaririza
Bonna olaba balabe bonna bakutuntuza
Naye amazima wegakulumiriza gakasasa
Nti oluusi nawe byokola tebikugasa
Nze kati nasalawo kukakana
Kyesimanyi sidaawo neneswaza
Omutwe kati nguyimiriiza kyenda
Empisa embi zonna nziresse kunsonda
Kanwane osanga mumaaso jengenda
Esuubi jeliri lininda

Chorus
Gwe kwata byange, kwata kange,
Yimuka goberera fenna tugende
Gwe kwata byange, kwata kange,
Yimuka goberera fenna tugende

Verse 2
Maama yangamba tokula ngodda mabega
Zzimba nga woyagala naye wuliriza
Tambula nga wegendereza bingi kwelekeleza
Mubyoona byokola waliriza
Mubyona byokola maliriza
Omusango wegukusinga kikiriza
Tewali muntu atakwagaliza
Tewali alina biseera okulingiriza
Bonna abakufako bakuwa feeza
Nange kyenva kumaliri nkukeeza
Ove mubuliri olina okuyiga okulowooza
Abaggaaga baliira wagulu kumeeza
Abavu tewali abawuliriza
Kansubire nti oteze amatu ompiliriza
Buli kigambo kyenkutegeeza

Chorus
Gwe kwata byange, kwata kange,
Yimuka goberera fenna tugende
Gwe kwata byange, kwata kange,
Yimuka goberera fenna tugende

Verse 3
Okusiba etayi omala kola peesa
Toseka mwana wange ekyo tekisessa
Okunamiliza naye sinamaliriza
Olina okuyiga okuwuliliza
Olina okuyiiga okuonyereza
Ekindese byonna kubikutegeza
Mukadukkulu owulira tolina budukiro
Naye embiro mukizikiza nazo tezigasa
Wadde odda awo newesoza
Byonna byenkubulirira byabulungibwo
Ebitwala embiiro byonna bikoma kumakya
Kyakala mpola- -tambula mpola
Tewekona notalantuuka nogwa
Kuba ojjakwewunya nga ate tojjakwewonya
Nga ate nesamanya takuwonya geyena
N’embulirire teffa yonna

Chorus till Fade
Gwe kwata byange, kwata kange,
Yimuka goberera fenna tugende
Gwe kwata byange, kwata kange,
Yimuka goberera fenna tugende


Click the links below, if you want to BUY, LICENSE, USE or OWN the copyright to Kwata Byange song lyrics or other Lyrics for music songs written by #Racomstar / #CyrusTheWriter / #CyrusMigaddeSonglyrics, ©CyrusMigadde.com, BUY THE LYRICS DIRECTLY VIA MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or by using the contact form below. Unauthorized use of these lyrics is prohibited and will lead to prosecution.


Contact Cyrus Migadde

Please send a message to Cyrus Migadde below

By using this form you agree with the storage and handling of your data by this website

Leave a Comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.