Singa nali malayika Song lyrics

Singa nali malayika Song lyrics by Cyrus The writer and Front Artist


Singa nali malayika ( I wish I was an Angel to fly to you) song lyrics choruses and verses are below:

Intro:
Omukwano ogwa distance muzibu nyo
Nkuyooya nga bwenjooya emere eyokulya
Kale wadde nina IPhone Pro ekundaga ekifananyi nokuwuliza edoboozi, naye tekimala

Verse 1
Mbeera wano nenkulowoozako,
Ebinyenyegeze nebijja eziga.
Omutima gunuma okuzaama,
Olwobulumi okuba nti toli wendi
Ntula wano nenfumintiriza nti engeri ki,
Esobola okunsobozeesa okutukako?

Singa nali malayika,
Nandibuuse nenzijja gyoli
Singa dear nyabo nze nali musana,
Nandikwakiddenga

Verse 2
Kibi nyo nti siri kinyonyi,
Nebiwawaatiro okubuuka kutukako.
Sirina passport yona wadde,
Oba VISA okulinya nyonyi ejja woli
Pipipiki eziduuka speed enyo,
Okusobola okutukako ziri Europe

Singa nali malayika,
Nandibuuse nenzijja gyoli
Singa dear nyabo nze nali musana,
Nandikwakiddenga

Verse 3
Senga mbadde mugagga binojjo,
Bifekedde alina sente mu bank.
Nandiguze emotooka kapyaata,
Nenjikubamu ekisumuluzo nondabira awo
Tekimala okukubira esiimu,
Nebwetwogera nenkulabako ku screen, tekimala

Singa nali malayika,
Nandibuuse nenzijja gyoli.
Singa dear nyabo nze nali musana,
Nandikwakiddenga.


-Read the information below on how to contact us to receive a LICENSE FOR Singa nali Malayika Song lyrics .
-To check out other Lyrics for music songs written by #Racomstar/ #CyrusTheWriter, #CyrusMigaddesonglyrics, #CyrusMigadde, and Copyrighted to ©CyrusMigadde.com / Cyrus Migadde Publishing (CMP) Agency Sweden.
YOU CAN BUY THE LYRICS DIRECTLY VIA MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or use the contact form below, we shall give you the licence rights to use the lyrics, a rough idea of thr song melody and other details to help you produce your song.
-Unauthorised use of any song lyrics at CyrusMigadde music site and anywhere is prohibited and any illegal use of our music songs and poetry lyrics without our Licence, acceptance or consent will lead to prosecution.


Contact Cyrus Migadde

Please send a message to Cyrus Migadde below

By using this form you agree with the storage and handling of your data by this website

Leave a Comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.