Lwaki tetubeera bamukwano song

Lwaki tetubeera bamukwano song lyrics verses and choruses are below:

Verse 1
Tumaze kati akaseera nga twemoola
Oyambala newemyula notekena nga ekinya Nenkutunulira nenjiika amalusu olwenfananayo Nange wensulamu casual wear zange,
Onsaba omukono gwange nkukwaate mukiwato Olwo netukumba nga abanewasa enkeera Njagala kusaba ojje obeere gyensula naye ntya.

Chorus
Woba nga onjagala nga nange nkwagala
Lwaki tetubeera bamukwano
Njagala osengukile ewange tubeere bamukwano pakalast

Verse 2
Sisobola nakutunulira nyo mumaaso kuba oli magnet
Wenkusembelela sagala kuvaako, nkwagala nyo
Nawe osanga owulira nga nze kuba wendi wobeera
Era wangobya nebulangiti eyokubili
Nti tuli muntu omu twebikke bulangiti emu
Luli twali mu hotel byetwakolayo babilojja
Twaleka batutenda sente zetwayiwa okwesanyusa

Chorus
Woba nga onjagala nga nange nkwagala
Lwaki tetubeera bamukwano
Njagala osengukile ewange tubeere bamukwano pakalast

Verse 3
Kwolo nakuvuga nenkutwala gyosula
Wagaana okunsiibula mbu mu nyumba otyaamu Wanywegela butanva mukafuba nolemelako
Mbu bwesisula nawe wakili nkuzaayo nosula ewange
Amasanyalaze gekifuba kyo ganteeka ku stand-by
Lwabutanyega naye nange nali sagala kugenda Bwesisula nawe otulo tumbula,
Nensula nga ngulungutanila mubulili ngomuli ebisaanyi
Olimu ekisika omutima gwange obutakuvaako

Chorus
Woba nga onjagala nga nange nkwagala
Lwaki tetubeera bamukwano
Njagala osengukile ewange tubeere bamukwano pakalast


If you want to BUY, LICENSE, USE or OWN the copyright to Lwaki tetubeera bamukwano song lyrics or other Lyrics for music songs written by #Dion and #Racomstar / #CyrusTheWriter, ©CyrusMigadde.com, BUY THE LYRICS DIRECTLY VIA MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or by using the contact form below. Unauthorized use of these lyrics is prohibited and will lead to prosecution.


Contact Cyrus Migadde

Please send a message to Cyrus Migadde below

By using this form you agree with the storage and handling of your data by this website

Leave a Comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.