Bakuleke weyagaleko song lyrics and choruses are below:
Bakuleke weyagaleko song lyrics in Luganda is written by Cyrus Migadde
Intro
Aye, aye, aye aye
Ekiseera kituuse omwana okununuula nyina
Musumulule amakomera gona
Mange afulume yekolere kyayagala
Verse 1
Nkuyimbudde ekiba kibeewo,
Genda osanyuuse omutima gwo
Abaana oba obalekawo balekewo
Oba balo akutisatisa mulekewo
Genda mukikeesa nga okubye ebitiisa
Wanika egilasi nywamu paka bukesa
Bowa entuuyozo bakudiza maziga
Eyali omuntu bakuyisa nsolo
Boyita bano bakulaba nga lukyolo
Ali mukibuga nkugambye toda mukyalo
Ali mukyalo nonya watakunyiga
Tonyiganga okunyiga kwemalako mirembe
Tewegomba byamulembe,
bwoyoya omuyembe yiya gagwetisaako
Bewesaako bebakufunamu
Ogenda bwomu kwata lilyo omu
Enaku si yiyo omu bwoyagala okuseeka
Tulika oseke, tisa byona abaliwo
Aye, aye, aye aye
Chorus
Bakuleke weyagaleko
Mweno enaku enyingi
Munange wotamwenya
Tewali afaayo…
Bakuleke weyagaleko
Mweno enaku etakoma
Munange wotamwenya
Olowooza bafaayo
Verse 2
Obuvubuuka bwe bwatalibwa ntasiima
Omwana yakakibwa okuzala nga akyali muto
Gayika (akaaba) akabira empeewo ezakunsa
Obuuto bwe zide ziyiite, zitwale obulumi bwe
Yekweese mukakona kyoka bakuba
Basamba bakona bamwongereyo mukinya
Akabiina ensejere kafuuka lubengo
Eyalina sapatu kati ayiita bigere
Ebeere nambalalalyafuuka luwuzi
Olususu amakula lwafuuka vu
Munange buno obukya buziba luma mumwa
Kufuuka musajja, goyiwa tegagwayo
Nebowoobe tebabiwulira
Buli kyokola wefisizeeyo akadde akasala enjala
Naba kumazi agatukula wekube nekukawowo
Tokikola kusanyusa bawo, kikole kululwo
Elyo dembe lyo, bakolere ekisanide
Kulwomukagga wewumuze, kulyomusanvu wesanyuuse
Aye, aye, aye aye
Chorus
Bakuleke weyagaleko (maama)
Mweno enaku enyingi (mwenya)
Munange wotamwenya
Tewali afaayo…
Bakuleke weyagaleko
Mweno enaku etakoma
Munange wotamwenya
Olowooza bafaayo
Verse 3
Ozalaaki ekumi, bamwami? Mummy bwanakulekawo
Byangu kwogera okubitukiriza kusenvula nsozi
Bangu kuzaaala naye okubakuza kuyiwa musaayi
Bangi batuusa mukolo, abawala baduuse kumabujje
Abanewunyisa basaba badde bafumbe
Nengedde ensi bevidemu nga bakabira kumbalaza
Ndabye abakomyeeyo okuzaala nga baato
Kino kitalo nga bwokilaba Nange bwenkiraba
Kale kati batuleele abanaku twewayeemu
Omugezi atega abiri zino nkumi biri
Ali mubuliri enyumba emukubye
Sivumye sibuliridde, nkendezeeza bulumi
Senga tudda mubuntu embeera ya maama yandikyuuse
Chorus
Bakuleke weyagaleko (maama)
Mweno enaku enyingi (mwenya)
Munange wotamwenya
Tewali afaayo…
Bakuleke weyagaleko
Mweno enaku etakoma
Munange wotamwenya
Olowooza bafaayo
Outro
Aye, aye, aye aye
Aye, aye, aye aye
Maama mwenya
Maama mwenya
Click the links below, if you want to BUY LYRICS, LICENSE, USE or OWN the copyright to Bakuleke weyagaleko song lyrics or other Lyrics for music songs written by #Racomstar / #CyrusTheWriter, #CyrusMigaddesonglyrics, ©CyrusMigadde.com. BUY THE LYRICS DIRECTLY VIA MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or by using the contact form below to get the song melody and other details of the song and purchase to own it, the lyrics are for sell. Unauthorized use of these song lyrics at CyrusMigadde music site and anywhere is prohibited and any illegal use of our music songs and poetry lyrics without our acceptance or consent will lead to prosecution.