Mbagala nyo Song lyrics

Mbagala nyo Song lyrics verses and choruses are below:

Verse 1.
Abamu bagamba nti twazaawa
Nti bwetwagenda ebulaaya ebyeka netubipowa
Nti kati tujudde siringi, biwooma nabikawa
Oba sikyekyo, twewozeko!,
Ebbaluwa ziriwa, emyaka jiyise tubadewa?
Abaana betwaleka mumbuto bazalibwa.
Esaawa telinda bebaase.
Ketubakoledde kaliwa, akasiimo ketubalekedde kaliwa?
Ensimbi zetukozewo tuzitadewa?
Amaziga gakala, nebatwesonyiwa
Salongo John yaffa, radio simba yatubulwa,
CBS nayo yetamwa, wadde abalinda ebirungi tabakowa, bakowa okubalinda Nebayabya, enyimbe zaffe nazo nezigwa.

Chorus
Mbagala nyo X3
E Uganda eyo,
Eka eyo!
Mbagala, sibalimba
Mbagala, sibadyeka
Mbagala e Uganda eyo


Click to check out another luganda song “Bakuleke Weyagaleko song lyrics” at CyrusMigadde – com!!


Verse 2.
Abakulu, abato nabaana
Empisa nemisango zemutunenya tetubyegana.
Wadde tuzaaye, bulaaya yetufula kyetuli
Naye mulina okukimanya,
Nti misho zonna zetugoba zaffe wamu,
Fena kutugasa
Omubiri gulyeno gukola, omutima guli eyo wakka.
Zenkola zenfulumya, mukekereze kembawa,
Bwemulwala, nange ndwala,
Bwemusanyuka nange nsanyuka
Wadde nzaaye, tewali ayaniliza muyizzi adda nangalo nsa.
Tetuzinoga kumitti, mutwe, nakulwana
Wadde mpereza butwalo buna
Akatono kazira muliiso,
Akuwa aba muno, mwenna mbagala kuffa,
Mubuuno obulamu ani atunda obuwangwa bwe
Nasigala nga abalirwa nga muntu?,
tukyali wamu

Chorus
Mbagala nyo X3
E Uganda eyo,
Eka eyo!
Mbagala, sibalimba
Mbagala, sibadyeka
Mbagala e Uganda eyo


Click to check out another great luganda song “Bakabidde Tuyingidde song lyrics” at CyrusMigadde – com!!


Verse 3
Verse 3.
Twelabize kirala naye ewaffe jetwava makula,
Wetutuse nejetugenda, omusingi gwasibuka Kampala
Kasiru yelabire jeyava, naye sinze
Nyinza ntya okwerabira Uganda, Buganda noluganda
Nyinza ntya okwerabira e Kazo, ewa Bakuli ne Nakulabye jenakulira, nemba nga sibalimbye,
Nyinza ntya okwerabira essanyu,
Nempisa zenafunira e Kawempe, Old Kampala Ne Gomba.
Wadde Entebbe wala nyo,
Radio Simba ku internet egatutusako.
Mwe ffe, ffe mwe, temugwaamu manyi
Ndimukuubo nzijja, okuzaawa sikufa

Chorus
Mbagala nyo X3
E Uganda eyo,
Eka eyo!
Mbagala, sibalimba
Mbagala, sibadyeka
Mbagala e Uganda eyo


If you want to buy, license, use or own the copyright to Mbagala nyo song lyrics luganda hip hop song, or other Hip hop lyrics songs written by #Racomstar / #CyrusTheWriter / #CyrusMigaddeSonglyrics , ©CyrusMigadde.com.BUY THE LYRICS DIRECTLY VIA MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or by using the contact form below to get the melody and other details of the song and own it. Unauthorized use of these song lyrics at CyrusMigadde site and anywhere is prohibited and any illegal use of our songs and poetry lyrics without our acceptance or consent will lead to prosecution.


Contact Cyrus Migadde

Please send a message to Cyrus Migadde below

By using this form you agree with the storage and handling of your data by this website