Bakabidde Tuyingidde song lyrics

Bakabidde tuyingidde song lyrics


Bakabidde tuyingidde Song lyrics

Song Verse 1
Ekidde bwekivuga nti twa
Migadde nze mba ntuuse
Ntuuse akaseeko kanjijudde
Kuba engeri empya efunise
Kuwonye akawunga kati tooke
Tewali atakola agenda
Kutuuka wano wenyimiridde
Mpise mumwooto mukimanye
Abanaafu mwena mwedeeko
Ebirooto bimaze kunkabya
Nendayira okudda gyenazalibwa
Nzimbe Buganda bagyegombe
Ani yali amanyi nti oluganda
Lulituuka okuvuga mubigambo
Abadde alinda akoye
Abadde tatumanyi twegombe
Yena asingaayo twelinde
Guiness agweyo mu Angenoir
Nasekera wa nga silina waffe
Nazimba ntya nga segaase naawe
Nayimbira ani atali gwe
Nayimba ntya nesitenda sabasajja
Amazzi amateefu munyanja
Omuganda alugeera atugamba
Kamu kamu gwe muganda
Ekigambo kyensoose okwatula
Bakabidde tuyingidde


Ads by Amazon

Chorus
Oye tuwangudde
Bakabidde tuwangudde
Oye tuyingidde
Ketuyingidde tuwangudde
Oye tutumbudde
Bakabidde tuwangudde

Verse 2
Sekaseka nga owetaweta
Ekiwato kikyuuse paka wekimenyeka
Tuyanjula ekibinja Racomstar
Byetuleese bingi ne Sebaata atutya
Omukwaano gwetulina namwe gwa mpeeta
Okumanya gwa mpeeta buli akwata alingira
Buli ayingira takuta, ye mutakuta apinduuka
Ate namala kuffa, okubalaga nti mwena mbagala kuffa
Ebyenka byankya ebyayita biyite
Leero mbayita mbakowoola
Empeewo ezayita zireete emikisa
Walumbe atwale mubiri
Naye oluganda jinja teliffa


Ads by Amazon

Chorus
Oye tuwangudde
Bakabidde tuwangudde
Oye tuyingidde
Ketuyingidde tuwangudde
Oye tutumbudde
Bakabidde tuwangudde

Verse 3
Eri omuteesi, wolulimi oluganda
Kino nkikugamba, tojja kutujja ku Buganda
Tuze nekibinja, ekilwanirira buli muna Uganda
Simugagga simwavu buli mudugavu, kwata love
Fena tuli wamu, ke tuyingidde Kampala eyiide
Kwata zolinawo, fena tudigidde
Asingawo tanazaliwa, twakuzibwa nagonjebwa,
Abakulu tubasamu ekitibwa
Naye yeno esawa entalumbwa obutalumba
Oluganda lulina okuyimbibwa


Ads by Amazon

Chorus
Oye tuwangudde
Bakabidde tuwangudde
Oye tuyingidde
Ketuyingidde tuwangudde
Oye tutumbudde
Bakabidde tuwangudde


Click the links below, if you want to BUY, LICENSE, USE or OWN the copyright to Bakabidde Tuyingidde song lyrics or other Lyrics for music songs written by #Racomstar / #CyrusTheWriter / #CyrusMigaddesonglyrics, ©CyrusMigadde.com, BUY THE LYRICS DIRECTLY VIA MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or by using the contact form below. Unauthorized use of these lyrics is prohibited and will lead to prosecution.


Contact Cyrus Migadde

Please send a message to Cyrus Migadde below

By using this form you agree with the storage and handling of your data by this website