Sikyamuwuliza song lyrics by Cyrus The Writer and Sin Man
Sikyamuwuliza song lyrics choruses and verses are below:
Verse 1.
Gwenali nfirako, gwe gwenjagala
Eggulu lyange, akabugumo nekitangala
Kati nemubirooto tokyalimu, nsula ndoota, nga
nekatankira embidde mubaala
Okuva lwewagenda mubulamu bwange nazikila,
Ebirowoozo ebibi binsiibya mukizikiza,
Obwongo tebukyategera, sikyaava namunju ntya okuswaala.
Ggwe eyanyinuzanga okuvuluga abawala abalala
Naye kati genkaaba genkomba ekyaalo kyona kinsekerera
Omuzigo mwetwapangisanga gwanfukira ekomera
Nasigala wano bwomu peke, okusigala obwomu buluma
Mpulira nga sekadama eyagenda ebuwalabu nga Uganda endi wala
Chorus
Nze gwenali mpaana sikyamuwuliza.1
Newemukubira amasimu takyakwaata. 2
Mukyaalo nagendaayo ewabwe teyabasibula. 3
Nze ngudde nedalu kuba nali sakisubira.4
Verse 2.
Ntimbye ekifananyi kyo kubipande
Nenamba yange kweeli, akundabirako agambe odde
Omusajja gwewaleeka, nze nkuwandikidde
Akayimba kano, bwokawulira kumikutu, wadde tokagadde,
Naye mulimu okuyayana kwomuntu omulwadde,
Ndiwano newunya, nebuuza, byansobedde
Oba bakubba, oba wabula bubuzi binsobedde
Naye akabonero nti engooyezo wazisiba kilaga bulazi nti watwala obudde,
Nokola plan eyokubulawo ogende
Waliwo kukyalo ayabotodde ekyama nti oli Mubende
Ntuseeyo, boda boda njivuze ngomulalu, district yona njetolodde,
Muga gwange ogutakalira mukwano, sikukubako kimunye,
Bambi komawo gyendi nkwegayiride
Chorus
Nze gwenali mpaana sikyamuwuliza.1
Newemukubira amasimu takyakwaata. 2
Mukyaalo nagendaayo ewabwe teyabasibula. 3
Nze ngudde nedalu kuba nali sakisubira.4
Verse 3.
Bwokabiira ekikugenzeeko oba ofuuse kataala
Ebyo byali bigambo bya Bobi, nze mubulamu bwange gwe okyali etaala
Okyamuliisa ebirooto byange gwe kitangaala
Nfuna akaseeko buli bwenkulowozaako nga bukedde
Njijukora ekyenkya kyontegekera nga kiringa ekya Serena mu city
Era nkyakuba obufananyi nga tuli munju tutudde
Nga tuli basanyuufu, nga tuli babiri bulungi tuukalidde
Kati nfukamidde kumaviivi nsaba Katonda anyambe odde
Chorus
Nze gwenali mpaana sikyamuwuliza.1
Newemukubira amasimu takyakwaata. 2
Mukyaalo nagendaayo ewabwe teyabasibula. 3
Nze ngudde nedalu kuba nali sakisubira.4
-Read the information below on how to contact us to receive a LICENSE FOR Sikyamuwuliza song lyrics .
-To check out other Lyrics for music songs written by #Racomstar/ #CyrusTheWriter, #CyrusMigaddesonglyrics, #CyrusMigadde, and Copyrighted to ©CyrusMigadde.com / Cyrus Migadde Publishing (CMP) Agency Sweden.
–YOU CAN BUY THE LYRICS DIRECTLY VIA MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or use the contact form below, we shall give you the licence rights to use the lyrics, a rough idea of thr song melody and other details to help you produce your song.
-Unauthorised use of any song lyrics at CyrusMigadde music site and anywhere is prohibited and any illegal use of our music songs and poetry lyrics without our Licence, acceptance or consent will lead to prosecution.