Okukwelabila kwalema lyrics

Okukwelabila kwalema lyrics verses and choruses are below:


Okukwelabila kwalema lyrics

Song Verse 1.
Nabade nebase ekiro,
Nempulila ankwatako.1
Bwentyo nempawamuka,
Nentunula wewali osula, nga sikulabawo.2
Nenkwatakwata nga ndowooza,
Nti oba oli awo osembedeyo.3
Kyoka ela nga toliiwo,
Maama laba bwenzijukila,
Nti you’re no more, here with me.4

Chorus
Abagenda tebadda
Naye gwe wandikomyewo
Kuba ndi wano, nfa ekiwubaalo
Okukulowooza kwensinga,
Okukwelabila kwalema. Aaahaa

Verse 1.
Ebiseera bingi nga ntambula,
Ndaba face ezikufanana.1
Nembatunulira nesanyu elingi,
Olusi bebandabula okwedako, nga bo siye gwe.2
Awo akamyenyu nekanzigwako,
Nempulira nga omulalu gwebaloga.3
Omutima negunuma,
Mukama nga kinuma nti,
Nti you are no more here with me.

Chorus
Abagenda tebadda
Naye gwe wandikomyewo
Kuba ndi wano, nfa ekiwubaalo
Okukulowooza kwensinga,
Okukwelabila kwalema. Aaahaa

Verse 3
Senga essanyu lyari mu bank,
Nandijimenye nendiba.1
Senga lyari ligula sente,
Nandizikoze nendigula, nensanyukamu esawa.2
Njiye amaziga negatuluka
Naye enaku nyingi nyo tenvako.3
Numwa nti weendi toliwo,
Buli lunaku lunjijukiza
Nti you are no more here with me.

Chorus
Abagenda tebadda
Naye gwe wandikomyewo
Kuba ndi wano, nfa ekiwubaalo
Okukulowooza kwensinga,
Okukwelabila kwalema. Aaahaa


Click the links below, if you want to BUY, LICENSE, USE or OWN the copyright to Okukwelabila kwalema lyrics or other Lyrics for music songs written by #Dion and #Racomstar / #CyrusTheWriter, #CyrusMigaddeSonglyrics, ©CyrusMigadde.com, BUY THE LYRICS DIRECTLY VIA MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or by using the contact form below. Unauthorized use of these lyrics is prohibited and will lead to prosecution.


Contact Cyrus Migadde

Please send a message to Cyrus Migadde below

By using this form you agree with the storage and handling of your data by this website

Leave a Comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.