Lwaki omukuba song lyrics

Lwaki omukuba song lyrics choruses and verses


Luganda Song Lyrics for Lwaki omukuba song are written by Cyrus Migadde :

Verse 1.
Ntandikirewa okutegeza enaku emuli kumutima
Kyendowooza sikyolowooza abasajja tujudde etima
Mubayisaamu amaaso, nemubanyooma, nokubavuma
Omuntu akufako omuyita otya enkima
Nga yakujja mukasisira okutuusa bonna webakuusima
Akuzalidde abaana nekusomero agenda nabakima
Oba okimanyi yakusima lwaki nawe tomulaga nti nawe osiima
Wooba okimanyi adda kiro lwaki togenda nomukima
Lwaki wadda ngabuyise lwaki bamuliranwa bawulira ebiduuduuma
Lwaki omukubisa ekyuuma nga nawe okimanyi wekiluma
Nomudamu webuziba paka enkoko wezikokolima
Kitawe nabulwa otulo nga ebiwundu bimuluma
Omuntu akufumbira etooke nawe nowulira nga liwooma
Nakusikira olunyama negaro nokira nokkuziluma
Kaki komukoledde okujako okuzimbya amatama
Ssebo weddeko, kimanye nti oyo gwojoga mange,
Buli mukazi ali kunsi muyita maama


Click to check out another luganda song “Bakuleke Weyagaleko song lyrics” at CyrusMigadde – com!!


Chorus
Lwaki omukuba x2
Lwaki omutulugunya
Lwaki maama omukuba?

Lwaki omukuba x2
Lwaki omukulusanya
Lwaki maama omukuba?
Lwaki tomuwuliriza
Okusinga okumukuba?

Verse 2.
Okuva omuganda eyasooka Kintu
Weyalinya ebuganda, maama abonabona
Talina budukiro enaku emuliko eyoza nelumonde, emuruma
Buli lunaku olukya lumumalako nyama
Emeere nga wagilya yonna wagisesema,tewooma
Weyasanga omulenzi ekyo nakyebaza mukama
Afunye olubuto alekede awo okusoma
Wyita mbale nga olubuto balweganye
Ebiziibu bbyabakkazi byo tebikoma
Talina mulimu tasobola kulima
Omwana amuzalidde kulugudo jelukoma
Talina sente naye omwana balina okumugema
Sente zawayo zo zamulema omwana nakoziima
Ensi weleema ensi ekutama
Newokukuluuma newekikuluma
That’s life mwatu nti bayamba yeyamba
Tebayamba muntu yenna atalina kyalina


Click to check out ALL Luganda song lyrics at CyrusMigadde – com!!


Chorus
Lwaki omukuba x2
Lwaki omutulugunya
Lwaki maama omukuba?

Lwaki omukuba x2
Lwaki omukulusanya
Lwaki maama omukuba?
Lwaki tomuwuliriza
Okusinga okumukuba?

Verse 3.
Enaku emuliko, elinga ebwa elikwata kukabina
Tosobola kutula tosobola kusiitama
Ensi bwetyo bwedaza omuwala atalina muyiima
Tabeera namwasirizi anamuwayo wadde kukagama
Maama wabana gwakira baki namira epini
Ekubo alikutte omwana amututte
Omwami amusanzeyo awakka nga atudde
Nti sente nazilinda omwana nga mulwadde
Kati wunno muresse ebintu mbikurekedde
Omwana amusudde omwami bimusobedde
Omwami amugobye amukutte amuwaludde
Omukono agukutte omukono agunyodde
Omwami atalantusse omwana agudde
Omukyala amusambye endulu zigoberedde
Omwami amusambye omukyala abunidde
Ensingo aginyodde omwami amutemudde


Click to check out another luganda song “Twogera Luganda song lyrics” at CyrusMigadde – com!!


Chorus
Lwaki omukuba x2
Lwaki omutulugunya
Lwaki maama omukuba?

Lwaki omukuba x2
Lwaki omukulusanya
Lwaki maama omukuba?
Lwaki tomuwuliriza
Okusinga okumukuba?


If you want to BUY, LICENSE, USE or OWN the copyright to Lwaki omukuba song lyrics or other Luganda Lyrics for music songs written by #Racomstar / #CyrusTheWriter / #CyrusMigaddeSonglyrics, ©CyrusMigadde.com, GO TO MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or by using the contact form below. Unauthorized use of these lyrics is prohibited and will lead to prosecution.


Contact Cyrus Migadde

Please send a message to Cyrus Migadde below

By using this form you agree with the storage and handling of your data by this website