Abantu Tubazeemu Amanyi Lyrics by Cyrus the writer / @Cyrus Migadde / CMP Agency, Sweden.
Intro:
Temutumalamu manyi
Mutuzeemu amanyi
Verse 1
Awo wossima, yongera osimire dala
Wadde mu mutima owulira, nga wena osikatide
Ebirungi, Katonda yabikweka, eri munda mubuziba
Ekirooto kyo, kijjakutukira, gwe lemerako bulemezi.
Chorus
Abantu tubazeemu amanyi
Abantu tubazeemu essubi
Abantu tubawe essanyu
Nomukwano bakendeeze obulumi.
Verse 2
Awo wooli, tambula nga ogenda mumaaso
Wadde omutwe gukuluma, nga owulira osigalidde
Yiiya, fumintiriza, lwana, yongera kutoba
Bwonovunuka, olusozi Sayuni, zaabu eyo akulinze.
Click to check all our song lyrics in Luganda
Chorus
Abantu tubazeemu amanyi
Abantu tubazeemu essubi
Abantu tubalage ekkubo
Lyebanayitamu okwekulakulanya.
Bridge: Sing higher, higher tone, lose yourself!
Bwonsanga kunyanja, nga obuggaga mbuyooza kajiiko
Tonvuuma kunfirako, kyoyagala sikyenjagala
Omutwe okozesa gugwo, obwongo nina bwange
Bwoba onsoose okututumuka, tekitegeza nti nze sijjakutukka mungeri yange eyantondebwa.
Verse 3
Buli omu gyali, ali kulugendo lwe
Wadde osooba ng’enfuddu, naye kasita totudde
Oyo alina speed, ng’ekirako eyakaweewo, tonyigira toninyako
Bwoba ompitaako, toninyako, gyogenda sijjengenda.
Chorus
Abantu tubazeemu amanyi
Abantu tubazeemu essubi
Abantu tubawe amagezi
Nokumanya bavunuke embeera
Abantu Tubazeemu Amanyi Lyrics by Cyrus Migadde @CyrusMigadde.com / CMP Agency, Sweden.
Contact us in the form below to license the Abantu Tubazeemu Amanyi Song Lyrics or to check out other Song Lyrics for music your songs written by #Racomstar/ #CyrusTheWriterlyrics, #CyrusMigadde, and Copyrighted to ©CyrusMigadde.com / Cyrus Migadde Publishing Agency, Sweden, (CMP Agency, Sweden) #CMPAgency. – OR BUY THE SONG DIRECTLY VIA MY SONG LYRIC PORTFOLIO AT SONGBAY
-Unauthorised use of any song lyrics at CyrusMigadde music site and anywhere is prohibited and any illegal use of our music songs and poetry lyrics without our Licence, acceptance or consent will lead to prosecution.