Yegwe munange song lyrics – Yegwe Munange means ”It is you my dear”
Yegwe munange song lyrics verses and choruses are below:
Song Verse 1.
Wenakusangira nali ngudde edalu olwomukwano.
Nasiganga ensigo naye nga simanyi nti nsiga kumayinja.
Kuba muzeeyi wange omusajja naye bwati bweyali akola emanga eyo.
Kale nange nakopa ebyo sakabalanga nimiro,
Sasunsulanga oba kujamu olumbugu
Nasanganga nimiro nga nsiga nsigo kyere..aaah Senga tewajja nandibadde mbuyaga kati ezikunta..
Chorus
Yegwe x4 sikulimba
Yegwe x4 munange
Yegwe x4 atanimba
Yegwe x4 abeera nange
Verse 2.
Nali nga bwentyo misana nakiro nga nze ngoba sikati
Wadde kati nayiga esomo naye omuddo gwamala kuntuukka kubinywa
Ejjo emisango jenaza olwo jo katabalika
Nabakyala benamenya emitima bankolomira
Wenalwala ekilwadde sinzigu nenjiga nti nandibadde nedangako
Nandibadde nyiga nga break nga sinavuga pikipiki
Naye weyansula ekigwo sinzigu gwe wanjijja mubisoto..
Chorus
Yegwe x4 sikulimba
Yegwe x4 munange
Yegwe x4 atanimba
Yegwe x4 abeera nange
Bridge:
Ye gwe munange eyateleza ebyali byasoba
Yegwe munange eyakomyaawo eddembe ewange Oba nandibade ntya nga sili nawe Omumbejja?
Verse 3.
Olujja lwali lwazika paka mulyango
Naye gwe bwewaja nodabiliza, nokoola nolusuku nosalila
Omuntu omulungi nga gwe, omusawo webyo byona ebyali binuma yegwe musomesa ansingila anjigiliza ebyo ebyali balema
Wempabye nompabula, wensobeza nonsonyiwa
Nze eyali yakyayibwa abangi olwobutayisa sikaati
Laba bwenfuna omumbejja nanteleeza
Chorus till fade:
Yegwe x4 sikulimba
Yegwe x4 munange
Yegwe x4 atanimba
Yegwe x4 abeera nange
If you want to buy, license, use or own the copyright to Yegwe munange song lyrics, or other Lyrics for music songs written by #Racomstar/Cyrus Migadde – #cyrusthewriter and Dion Val – #CyrusMigaddeSonglyrics, ©CyrusMigadde.com. BUY THE LYRICS DIRECTLY VIA MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or by using the contact form below to get the melody and other details of the song and own it. Unauthorized use of these song lyrics at CyrusMigadde site and anywhere is prohibited and any illegal use of our songs and poetry lyrics without our acceptance or consent will lead to prosecution.