Togwaamu manyi song lyrics

Togwaamu manyi Song Lyrics verses and choruses are below:

Togwaamu manyi Song Lyrics

Song Verse 1
Omulimu gwo ogukooye, ogamba okoze ofubye
Mbu naye nebwokela, onyuka nga bwewaze
Nooli gwewegomba mpulila naye akaaba
Mbu wade asasulwa omusaala, gugwaawo tegunatuka na munsawo ye
Gyebigwela asigaza mabanja, laba naba’Bank baabo kunyumba ye

Chorus
Kola kola togwaamu manyi ssente tezigya mangu
Zifunibwa abo abakozi ate nga bagumikiliza
Ebyo byolowooza mbu walemwa osinga banji eyo

Verse 2.
Omuganda yalugera nti kamu kamu gwemuganda.
Emwami onoga emu kwemu omuweza ensawo.
Abasomi batandikira mu kibiina ekisooka paka ku degree.
Omugenzi kafeero yatandikira ku kadongo kamu okumanyibwa eri buli ayogera oluganda.
Buli azimba enyumba atandikira ku musingi
Kale topowa, maririra, wekakabe, fuba, loota ojakujutuka otuuke kulyengedde.

Chorus
Kola kola togwaamu manyi ssente tezigya mangu
Zifunibwa abo abakozi ate nga bagumikiliza
Ebyo byolowooza mbu walemwa osinga banji eyo

Verse 3
Okela mumatumbi budde ogende ononye ekigulira magalo ediba.
Era bakusekerera nga omugugu gwewetiise gukuyiisa entuyo.
Amabavu gakujudde mungalo lwa mulimu ogutakulekera sanyu.
Naye olwemedeko lwa baana bo basome,
Okola buli lukya tokowa kuba n’abantubo besigamye kugwe.
Topowa, buli kyokola kimaririze kuba buli nusu ekuwebwe okuletera sanyu.
Muganda wange omulimu gwo togukoowa, omulimu gwo kwekuberawokwo.

Chorus
Kola kola togwaamu manyi ssente tezigya mangu
Zifunibwa abo abakozi ate nga bagumikiliza
Ebyo byolowooza mbu walemwa osinga banji eyo

Chorus till fade
Kola kola togwaamu manyi ssente tezigya mangu
Zifunibwa abo abakozi ate nga bagumikiliza
Ebyo byolowooza mbu walemwa osinga banji eyo

If you want to BUY, LICENSE, USE or OWN the copyright to Togwaamu manyi song lyrics or other Lyrics for music songs written by #Dion and #Racomstar / #CyrusTheWriter, ©CyrusMigadde.com, BUY THE LYRICS DIRECTLY VIA MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or by using the contact form below. Unauthorized use of these lyrics is prohibited and will lead to prosecution.

Contact Cyrus Migadde

Please send a message to Cyrus Migadde below

By using this form you agree with the storage and handling of your data by this website

Leave a Comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.