Kisoboka Song lyrics

Kisoboka song lyrics verses and choruses are below:

Song Intro:
Akabuza jako, tukisobola okukyusa ebintu!

Verse1.
Sawa wetuka emu amawulire negatuka
Nebagasomma nti bakabidde batusse eka
Akabuza jako ate ani omulala
Agenda okukyusa ebintu okujako Racomstar
Lekerawo okubusa busa gwe sala getegeka
Genda wansi mumufariso, genda mubanka
Genda emitwetwe zimaleyo jozitereka
Gula tiketi yo tula kumwanjo awasooka
Tosubwa okubelayo Nambole ng´e yabika
Mbadde nebirooto bingi naye nga situuka
Nenfuwa emindi empewo zewakka okukyuka
Kati omuzindalo gwange, paka musayi kuyika
Nakuza mpaka, nyingiza mpaka
Nkyali muvubuuka Racomstarz paka

Chorus
Bagamba x2 nti tekisoboka
Nti tetusobola kukyusa bintu
Nembagamba x2 nti kisoboka
Nti era tusobola okukyusa ebintu


Ads by Amazon

Verse 2.
Ngenda kuyimba oluganda paka wenalulyamu emeere
Ngenda kuyimba oluganda paka wenalugulamu empale
Ngenda bazinisa paka wenuyabika obugere
Era mbongere paka wemunampa engule
Paka wemunakiriza nti nze nsingayo kale
Nze singa nze ngenda okubakolera akatale
Wadde mbyatula oluganda salusomera Makerere
Radio ne tv ngenda kuzisamu kerere
Ngenda kutumuuka nga omugenzi pepe kale
Nebigambo ebizitowa nga ebyomugenzi Bob Marley
Edoboozi ngenda kozesa lya mugenzi Philly
Kamudire mubigere kuba ngaye nange nsibukidde sweden.

Chorus
Bagamba x2 nti tekisoboka
Nti tetusobola kukyusa bintu
Nembagamba x2 nti kisoboka
Nti era tusobola okukyusa ebintu


Ads by Amazon

Verse 3.
Tamale tabamala kuba ye ayagala byabwerere
Ekitwawula ebyange tobisasulira bwerere
Mbiwa amakulu byonna nebivuga nge ndege
Abakopi mwetegeke lino lye kubo mungoberere
Abagessi mwe mwetaaga kusiba kunjegere
Ensonga eli nti mwonona oluganda lyaffe
Muli nanda munimiro, mulinga sere
Naye bijja bigere buli nsigo tefuka sere
Nze muntikire mwe mumpe engule
Luno oluganda lw’owulira tewali kigambo kigule
Mwe mwetegeeke, mumbongere, kambongere kambasekerere.

Chorus
Bagamba x2 nti tekisoboka
Nti tetusobola kukyusa bintu
Nembagamba x2 nti kisoboka
Nti era tusobola okukyusa ebintu


If you want to buy, license, use or own the copyright to song lyrics for Kisoboka song, or other Hip hop songs in Luganda written by #Racomstar, #CyrusTheWriter, ©CyrusMigadde.com. GO TO MY LYRICS PORTFOLIO AT SONGBAY , or contact me at info@cyrusmigadde.com or by using the contact form below. Unauthorized use of these lyrics is prohibited and will lead to prosecution.


Contact Cyrus Migadde

Please send a message to Cyrus Migadde below

By using this form you agree with the storage and handling of your data by this website

Leave a Comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.